Aba M23 bawambye Bunagana, abajaasi ba Congo beewaddeyo eri UPDF

Akawungeezi
Akawungeezi
667.9 هزار بار بازدید - 2 سال پیش - Embeera esanyaladde mu tawuni ey'ebunagana
Embeera esanyaladde mu tawuni ey'ebunagana ku nsalo ya Uganda ne Congo oluvanyuma lw'abayekera ba M23 okuwamba tawuni eno ku ludda lwa Congo.

Kino kireseewo akasatiro nga bannansi ba Congo babuna emiwabo okuyingira e Ggwanga lya Uganda, so nga n'ebyentambula byona biyimiridde wakati w'amawanga gombi mu kitundu kino.

Yo ku ludda olwa Uganda embeera nteefu ng'era e Gye lya UPDF liri bulindaala okwanganga omulabe.

Maj. Willy Ngoma, ayogerera akabinja ka M23 agamba bo betegeffu okwogereziganya ne Gavumenti ya Congo singa ekiriza okubawuliriza.
#ntvnews  #Akawungeezi


For more news visit http://www.ntv.co.ug
Follow us on Twitter Twitter: ntvuganda
Like our Facebook page Facebook: NTVUganda
2 سال پیش در تاریخ 1401/03/23 منتشر شده است.
667,974 بـار بازدید شده
... بیشتر